Jackie Kizito ft Kenneth Mugabi NSANGI Official video 4K (No Fear Album)

Поделиться
HTML-код
  • Опубликовано: 5 фев 2025
  • Award winning #JackieKizito teams up with Afro-neo soul musician, #KennethMugabi to perfectly craft #Nsangi a ballad that speaks volumes to the girl child. Off the #NoFearAlbum, Nsangi is an educative song that preaches awareness to adolescents especially girls to be aware of the ever 'panting vultures.'
    No Fear Album is available on:
    Spotify: spoti.fi/3VBRbh3
    Apple Music: apple.co/3eIX6jx
    Boom Play: bit.ly/3MM51cH
    RUclips: bit.ly/3yUQu8R
    Twitter: bit.ly/3Tg6nib
    and Amazon Music: amzn.to/3yTYUNJ
    NSANGI-Lyrics:
    [Bridge]
    Mwanna wange ow’obuwala
    Weekume era werinde wango
    Nkwagaliza omusajja ow’obuvunanyizibwa
    Akufaako era akwagala
    [Verse I]
    Nsangi Nsangi
    Ohhhh! Nsangi
    Nsangi mwanna wange
    Eyanfanana kalangi
    Nze nkutya nnyo okula okemebwe abalenzi bakuno
    Amattu gagule owulire ebigambo byawano
    N’embatya nnyo olaba enkennene ezabaze wano
    Bwezengera onoge ogabule abayala bakuno
    Okuwona wango, waango awungula eccira
    Bwaba nga tanalya ekibuto kimulebera
    Omwanna wango! Wango! waango awungula eccira
    Bwaba nga tanalya ekibuto kimulebera
    [Chorus]
    Ab’emitaala eri N’ab’emitaala eno
    Mwenna ndibalwanya kangatabangule eddubi
    Ab’emitaala eri N’ab’emitaala eno
    Mwenna ndibalwanya kangatabangule eddubi
    Ate munampaki?
    [kangatabangule eddubi]
    Ennyimba zadda ddi?
    [kangatabangule eddubi]
    Zezankunza mu nsi
    [kangatabangule eddubi]
    Ziyimbe mwanna ggwe
    [kangatabangule eddubi]
    [Verse II]
    Ebintu by’ensi bigendeko mpola
    Abantu abasinga mitima gyanjjaba
    Baswaakidde balundduga ng’embwa z’okukyalo
    Nsangi, otandise okusuna ebeere!
    Otandise okupaapaza [Hi!]
    Wengedereze empisi ku sosolo mediya
    Abakunyigira amaaso bagenddeko mpola
    Abakusiiya bagambe [Aga!]
    Ab’emitaala eri, n’abemitaala eri
    Mulabule ssewazike oyo afukule ebutto
    Newango awulire oyo awungula eccira [Eeh!]
    [Chorus]
    Ab’emitaala eri N’ab’emitaala eno
    Mwenna ndibalwanya kangatabangule eddubi
    Ab’emitaala eri N’ab’emitaala eno
    Mwenna ndibalwanya kangatabangule eddubi
    Ate munampaki?
    [kangatabangule eddubi]
    Ennyimba zadda ddi?
    [kangatabangule eddubi]
    Zezankuza mu nsi
    [kangatabangule eddubi]
    Ziyimbe mwanna ggwe
    [kangatabangule eddubi]
    [Verse III]
    Wango aba ku muyigo wango
    Wango ayigga nembogo ey’ebbango
    Nawoolovu yamulema yepanka
    Wambwa amwekweeka
    Mbu kwata ekiriga
    Ko ye wango
    Alindabira wambwa, muno temuli wambwa
    Muno mulimu waddiga muno temuli wambwa
    Alindabira wambwa, muno temuli wambwa
    Muno mulimu waddiga muno temuli wambwa
    [Refrain]
    Omwanna wango, waango awungula eccira
    Bwaba nga tanalya ekibuto kimulebera
    Omwanna wango! Wango! waango awungula eccira
    Bwaba nga tanalya ekibuto kimulebera
    [Chorus]
    Ab’emitaala eri N’ab’emitaala eno
    [Ab’emitaala eri]
    Mwenna ndibalwanya kangatabangule eddubi
    [Mulabule ssewazzike oyo]
    Ab’emitaala eri N’ab’emitaala eno
    [Newangoooooo]
    Mwenna ndibalwanya kangatabangule eddubi
    Ate munampaki?
    [Ohhhhh]
    [kangatabangule eddubi]
    Ennyimba zadda ddi?
    [Mulabule ssewazzike]
    [kangatabangule eddubi]
    Zezankuza mu nsi
    [Ohhhhh]
    [kangatabangule eddubi]
    Ziyimbe mwanna ggwe
    [Ohhhhh]
    [kangatabangule eddubi]

Комментарии • 72