Abaana 35 banunuddwa, eyabatwala yabalimba nti agenda kubawa ‘bbasale’
HTML-код
- Опубликовано: 10 фев 2025
- Poliisi e Bukomero mu district y'e Mityana enunudde abaana 35 abaali bajjibwa ku bazadde baabwe nga babasuubiza obubaweerera ku bwerere.
Kiteeberezebwa okuba ng’abaana bano bajjiddwa mu bitundu okuli Ganda, Nsumbi , Kyebando, Kazinga Nansana,Kakiri ne Nkoowe mu district ye Wakiso.Omukwate Jesca Nayima atubuulidde nti yali yayolesebwa ng’alina okuyamba abaana naye kwekusitukiramu natandika okukunganya abaana bano bagende basome. Mukaseera kano omukwate akuumibwa ku poliis y'omulubigi nga nabaana bakwasiddwa bazadde baabwe.
#NTVNews #Akawungeezi
For more news visit www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter / ntvuganda
Like our Facebook page / ntvuganda