OBUFUMBO - PASTOR SAMUEL KAJOBA || SERMON PODCAST

Поделиться
HTML-код
  • Опубликовано: 4 ноя 2024

Комментарии • 5

  • @beckynamubiru2095
    @beckynamubiru2095 Год назад +1

    Great sermon

  • @rakanalanizi-o1e
    @rakanalanizi-o1e 5 месяцев назад

    Amen 🙏 wonderful sermon

  • @MsGratefulgal
    @MsGratefulgal Год назад +1

    Tweyanziza nnyo musumba.🎉 Endagaano zonna zetukola eri Katonda oba eri bantu banaffe, mu kanisa oba mu nsiko, Kitaffe aziwulira era aziraba.
    Yakobo yakola endagaano ne Mukama, nga amaze okuloota amadaala nga azuukuse. Yafeesi yakola endagaano, okuwaayo ekiwebwayo jye yasooka okusisinkana nga ava mu ddwaniro. Bw'osuubiiza munno okumufumbirwa oba okumuwasa, tutuukirize endagaano ezo for Christ's sake/for the gospel.
    Obudde bwonna tubeera era tuli mu maaso ga Kitaffe. Buuza Musa bwe yalaba omuliro mu nsiko, Yeekalu yali mu nsiko🌱🌲. Awaba e Kigambo kya Katonda (Yesu era Magezi), ekyo kifo kitukuvu period.
    Ddala Yesu bwabeera Emmanuel ate nga tuli Yeekalu ye entukuvu, tumutye era tukwate ebiragiro bye, tubiwe ekitiibwa obulamu bwaffe bwonna oba oli mu kibira oba mu Yeekalu, oba muntaana nga Lazaaro. Tewali Mwoyo We watatuuka. Omwoyo we yatuuka ne ku Yonna mu buziba bwe nnyanja ate ne Nebuchadnezzar yali mu nsiko naakakasa nti buli wamu kifo kitukuvu Kuba Katonda atudde muffe, tumusinze n'obulamu bwaffe bwonna mu kwogera, mu kulowooza, mu kulya (Danieri ne bakizibwe be) ne mu bikolwa, Balamu baamugema obutakolimira bantu naye yali amaliridde okukikola.
    Endagaano zonna ze tukola ne bannaffe mu kyama, Katonda aziwulira. Tuleme okwerimba. Ye Mukama amanyi ebirowoozo byaffe, abantu ffe twerimba. Yuda yali yegaaba omukazi wa mutabani we nti tamumanyi, ebyama ne bibikulwa. Omukazi/omusajja gwe wayagalako ne mufunna ne zzadde oba temufunye, naye n'omusuulawo, Kitaffe ye abeerawo era waali nga mwegatta. Atujjukiza okuddayo eri ab'oluganda betulinako ensonga twetereeze ate Olwo tulyoke tuweeyo ebiweebwayo byaffe (Mattayo 5:24)
    Mattayo 5:27 Mwawulira bwe baagambibwa nti Toyendanga: 28 naye nange mbagamba nti buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng'amaze okumwendako mu mutima gwe
    Bwogamba omuntu nti tufuuke ensonga, ne mukiriziganya, muba mumaze okukola endagaano mu maaso ga Katonda. Katonda, Mwoyo naye alaba era awulira byonna byetuba twogedde. Byonna bye tukola abiraba, bye tulowooza abimanyi, bye twogera abiwulira so tuleme okwerimba nti nze omukazi/omusajja simwagalangako, simumanyi, tetukwatagana, tebaamumpimaako....Katonda ye Mujulizi asooka mu bigambo byoyogera eri omuntuwo ow'obuvubukabwo.
    Katonda tamenya ndagaano, mwesigwa. Yatutonda mu kifaananyi kye era ayagala naffe tubeere beesigwa, teri kumenya ndagaano. Nga Katonda bwe yali omwesigwa eri Ibulayimu kinyoongera amaanyi okumwesiga era n'ebisubizo bye gyendi, nyongera okubikakasa. Katonda teyakyawa era teyagoba Ibulayimu wadde nga yamujeemera. Yamuyigiriza ng'obugumiikiriza. Tugumiikirize banaffe era tubeere abaddu abeesigwa. Yesu bw'anadda alyoke agambe: Oli muddu mwesigwa yingira mu ssanyu lya kitange🎉😊🙌
    Katonda akyawa okwawukana oba okumenya endagaano/omukwano

  • @ritakakumba5750
    @ritakakumba5750 4 месяца назад

    Great teaching 👏

  • @kondeemmanuel5748
    @kondeemmanuel5748 Год назад +1

    Hello agood afternoon Livestreamers children n people of God